Ssabalabirizi We Kanisa ya Uganda His Grace Dr Samuel Steven Kazimba asabye abantu okulekanga omukululo
Ssabalabirizi We Kanisa ya Uganda His Grace Dr Samuel Steven Kazimba asabye abantu okulekanga omukululo yonna jebabeera ngabayise basobore okujjukirwanga newebaba bavudde mubulamu bwensi .
Binno bibadde mububaka bwatisse amyuka Omulabirizi we Kampala Jackson Frederick Bbalwa Wabadde akurembeddemu okusaba kwokujjukira emirimu ja eyaliko Ssabalabirizi we Kanisa ya Uganda ate Omulabirizi eyasooka mubulabirizi bwe Mukono Omugenzi Dr Living Mpalanyi Nkoyoyo era nga okusaba kunno kuyindidde kulutiko eyabatukuvu Philip ne Andereya esangibwa Mukibuga Mukono nga Kati jiweze emyaka 7 bukyanga mugenzi Ono ava mubulamu bwensi.
Wanno wasinzidde okusaba abantu kumitendera ejitali jimu okulowoza kunsonga yomukoloYe mukyala Womugenzi Maama Ruth Nkoyoyo agamba nti Mumyaka jinno 7 Katonda abadde wammu naye newankubadde nga mubaddemu ebisomoza .
Omukolo gunno gw’etabiddwako abakurembezze okuva Mu government eyawakati neye Mengo.
Minister Wemirimu nentambula Mu ggwanga General Edward Katumba Wamala asinzidde wanno nategeeza nti Omugenzi Nkoyoyo yakola bingi eri eggwanga Uganda.#Cityfm96NewsUpdates