Abavubuka okukolera awamu-Minister omubeezi Amos Lugoloobi
By Spurb Ernest

Minister omubeezi avunanyizibwa kubyensimbi nokuteketeekera eggwanga Amos Lugoloobi akubirrizza abavubuka okukolera awamu nga begattira mubibiina olwo basobole okwekulakulanya .
Minister Lugoloobi bino abyogeredde kumukolo gwa bavubuka ebeggattra mukibiina kya kayunga yourth NRM Network oguyindidde kukisaawe ekitwe mu gomboloola lye Kayonza mu district ye Kayunga.
Ategezeeza nti abavubuka basaanye bagobelere ebintu byenkulakulana ebiri mukitundu kyaabwe nga bayita mu social economic transformation.
Wabula sentebbe wa bavubuka mu district ye kayunga Ssenkusu Nickson akutidde abavubuka obutenyigila mumivuyo nga tuli wakati wokwetegekela okulonda