Dr.Muwaabe Birali akedde kuyita RDC Kibwikaokubeerwo ng’abajulizi
By Spurb Ernest
Oluvanyuma lwa RDC w’ejinja Kibwika Michael okuyisa etteeka eligaana okuttikula eddagala mumalwaliro nga tewali mukungu wa government, olwalero akuulira eddwaliro lya Jinja general hospital Dr.Muwaabe Birali akedde kuyita RDC Kibwika, omuyambi we Kawuta Samuel, ne Chairperson board Jinja general hospital omwami Kiwanuka Paul okujja okubeerwo ng’abajulizi nga addagala elibalibwamu obukadde bw’essente za Uganda 135shs littikulwa balyookke bakakase abantu omuwendo gw’eddagala eliyingira mu ddwaliro lino
Ye chairman wa board omwami Kiwanuka Paul yenyamidde nyo olw’eddagala elizze nga agamba nti eddagala lino likyaali ttono nyo okusinziira ku balwade abajja mu ddwaliro lino era n’asaba government eyongereko ku ddagala ly’ewereza mu Jinja general hospital.
Radio Eno ayogedeko ne RDC nga bakamala okuttikula eddagala lino namukakasa nti ye nga RDC kino ky’abadde ayagala eky’okulondoola eddagala era nga kyakumuyambangako okunyonyola abantu kubikwata ku ddagala ng’alikumikolo ejenjyawulo.