Abatuuze be’busagazi Central basabidwa okudda eri omutonzi
By Spurb Ernst

Abatuuze be’busagazi Central mu gombolola lye najja mu district y’ebuikwe basabidwa okudda eri omutonzi kibayambeko okwewaala obukubagano mu maka kubanga nti mukutya mukama amagezi mwegasokera , okusaba kuno kukoledwa minister Diana mutasingwa , nga ono abadde ku mukoolo ogw’okuwerekera omugenzi BATEGANYA RONALD agambibwa okunywa obutwa obwamujje mu budde oluvanyuma l’okutta mukyala we KAGOYA BETTY wiiki ewedde
Ono wano wasinzidde nasaaba buli muntu okubera n’omuntu we gwanyumiza ku biziibu bye olwo no bandifuna okubudabuda, ono okwogera bino byona nga omusaasi waffle kyambadde Steven amattu