Abakulembeze nabatuuze mu nyenga basiimye omubaka omukyaala akiikirira disitulikiti y’eBuikwe mu palamenti Diana Mutasingwa wamu ne minisita w’ebyetaaka Judith Nabakoba
By Spurb Ernest
Abakulembeze nabatuuze mu nyenga division mu njeru municipality mu disitulikiti y’eBuikwe bavudeyo n’ebasima minisita omubeezi avunanyizibwa ku offiisi y’omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga era omubaka omukyaala akiikirira disitulikiti y’eBuikwe mu palamenti Diana Mutasingwa wamu ne minisita w’ebyetaaka Judith Nabakoba olwokusazamu ebyapa ku taaka lya public land kukyalo Kikondo,Buwampa ne Kidadirii nga abatuuzeze abasoba mu mitwalo esatu ku byalo ebyo bebali bolekekede osindikirizibwa bave kubibanja byabwe kwebamaze emyaka n’ebisibo.
Banno nga bakulembedwamu sentebe wa division y’e nyenga Pastor Bamu Moses agamba nti abatuuze mukisera ekyo emitima gyali gibasula kumutwe nga eyabulira owolugambo nti naye yebaza minisita Daina Mutasingwa olwomulimu gweyakola okuleeta minisita Judith Nabakoba nasazamu epyapa ebyali byakubwa kutaaka lyabwe n’ebanakigwanyizi.
Ssente w’e kyalo Kikondo Mulongo Buluhan agamba nti balimukusomozebwa kwamanyi olwekibba kye taaka ekyali kibalusewo kukyalo kye nti naye oluvanyuma lwokutegeza minisita Daina Mutasigwa ya situkiramu mu bwangu nagya nabatasa kubaba be taaka abali bamaze n’okufuna ebyapa.
Wanno abakulembeze banno webavirideyo n’ebakuba omulanga ogutakungula eri abatuuze okulaba nga bafunana obwananyini ku bibanja byabwe balema kwesulirayo gwanagamba kuba bayinza okukifuwa nga bakiza munda.